Wednesday, October 28, 2020

OKWEYOTEZA MU MANA

 

                                    OKWEYOTEZA MU MANA

 

            

OMULAMWA omukulu mu nsonga z’obufumbo kwesanyusa olwo ebirala ne biryoka bigoberera. Mu buwangwa naddala wano mu Buganda abakyala be basuubirwa okuba abasaale mu kuyiiya embeera esanyusa abaagalwa baabwe.

Eno y’ensonga lwaki bakazibattu buli ke bawulidde basitukiramu okusobola okuleetawo ekipya mu nsonga z’ekisenge.

Mu kiseera kino waliwo eddagala erizze ku katale eriyitiηηana ku mikutu gy’empuliziganya egicaase ennyo ensangi zino.

Lino nga mu kiseera kino litunda nga keeki eyokya mu maduuka g’eddagala ezzungu amanene kigambibwa nti balikozesa nga beeyoteza mu mbugo, ebbugumu ne lituuka ne mu nnabaana ne limuyonja.

Eddagala lino ng’erimu ku lyo liyitibwa ‘V-Size’ abalitembeeya bagamba nti lizza mu bakyala laasitiika, lifunza, livumula endwadde z’ekikaba wamu n’ebizimba by’omu nnabaana n’endwadde z’abakyala endala nkumu.

Omu ku batunda eddagala lino mu dduuka erimu mu Kampala agamba nti buli lukya abakyala abalyettanira beeyongera.

Erimu ku ddagala erikozesebwa okweyoteza mu mbugo.

 

Agamba nti lino lijjira mu bucupa obutonotono, era okulikozesa osenako jjiiko ewuuta ssupu n’ogitabula mu kikopo kya ttampeko y’amazzi agookya olwo omukyala n’atawaaza nga biwoze.

Mu ngeri endala agamba nti eddagala mu kipimo ky’ebijjiiko bisatu asobola okulitabula mu kalobo k’amazzi agokya omukyala n’atuulako olwo omukka ne gumusensera mu mbugo ne gumukolako ssaaviisi eyeetaagisa.

OKWEYOTEZA MU MBUGO KWAVA WA?

Enkola eno ennaku zino ecaase mu Uganda kigambibwa yasooka mu Amerika naddala mu ssaza lya California ne mu kibuga Newyork.

Esinga kukola ng’omukazi yaakava mu nsonga. Bwe yeeyoteza kiyamba obukyala, omumwa gwa nnabaana ne nnabaana okutereera obulungi.

Christine Anyumel omu ku batandiseewo enkola emanyiddwa ng’eyokujjanjabisa obutonde ( Healing Naturally Together) nga mwe muli n’abakyala okweyoteza mu mbugo agamba nti enkola y’okweyoteza eyamba okujjanjaba embeera ez’enjawulo omuli;

 Abakyala abafuna okulumizibwa nga bagenda mu nsonga n’ababuukabuuka mu nsonga. Agamba nti omukka ogwo oguva mu ddagala omukazi ly’akozesa okweyoteza guzibukula enseke ekiyamba omusaayi ogufuluma omukyala ng’ali mu nsonga obuteekwata, nga kino oluusi kye kireetawo okulumizibwa.

Okweyoteza era kuyonja nnabaana n’avaamu ebicaafu byonna. Kino kiyamba omukyala naddala aba alemeddwa okufuna olubuto n’atereera.

 Okweyoteza era kutta obuwuka bwonna obubeera mu bukyala ne kimuwonya okufuna endwadde z’omu bukyalya (UTI’S). Wadde ekifo kino kirina obuwuka obulungi obukikuuma, naye singa obuwuka obubi buyingiramu butta obuwuka obulungi olwo ekifo ne kirwala. Noolwekyo bwe weeyotesa otta obuwuka obubi bwonna.

Okweyoteza era kuyamba ku kugonza olubuto eri abo abakaluubirizibwa okufuluma.

Era kuyamba ku balina ebizimba mu nnabaana, kubanga omukka ogwo oguva mu ddagala gulina engeri gye guddaabirizaamu nnabaana ne guggyamu ebizimba..

 Liyamba abalina enkovu mu nnabaana ne mu bukyala ezijja olw’okuzaala.

Kuyamba okukkakkanya obwongo naddala ababa balina ebirowoozo ebyeraliikiriza.

Omukyala bwe yeeyoteza kimuyamba okukkakkana omubiri n’afuna obwagazi era n’anyumirwa akaboozi.

Kuyamba abalemeddwa okufuna embuto.

Erimu ku ddagala erikozesebwa mu kweyoteza.

 

EDDAGALA ERIKOZESEBWA:

Amawanga ag’enjawulo galina eddagala erikozesebwa mu kweyoteza. Eddagala lino okusinga lizibukula emisuwa omusaayi ne gweyongera okweyiwa mu bitundu by’enkyama, ekiyamba ebinywa by’omu bukyala okwongera okwemiima nga bwe byeta, ekyongera omukyala okunyumirwa ssinga babeera mu mukwano ne bba.

Eddagala erisinga okukozesebwa mu kweyoteza mulimu ‘Rose mary, Mint, Origano’ n’omujaaja.

BY’OLINA OKWEKKAANYA:

1 Omukyala alina olubuto tolina kweyoteza kubanga kikosa mwana ali munda.

2 Ekirala nga tonneeyoteza olina okumanya eddagala lye weetaaga erinaakukolako, kubanga buli kika kibeera ne kye likola. Okugeza bw’oba oyagala kwefunza, olina ly’okozesa, so nga bw’oba oyagala kufuna g’emugga era ly’okozesa libeera lya njawulo.

3 Teweeyoteza ng’oli mu nsonga kubanga kiyinza okutaataaganya obusimu bw’omubiri gwo.

4 Weeyoteze omulundi gumu mu mwezi naddala nga waakava mu nsonga. Kino kikolera nnyo abo ababa baagala okufuna embuto kubanga kiyamba okuteekateeka nnabaana n’okuzibukula enseke ezitambuza amagi.

5 Okweyoteza kulina kumala eddakiika 20 - 45.

 


No comments:

Post a Comment